Psalms 143

Zabbuli Ya Dawudi.

1 aWulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
era omutuukirivu jjangu ombeere.
2 bTonsalira musango,
kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4 cNoolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
n’omutima gwange gwennyise.
5 dNzijukira ennaku ez’edda,
ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6 eNgolola emikono gyange gy’oli,
ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.

7 fYanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
nneme okufaanana ng’abafu.
8 gObudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9 hMponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 iNjigiriza okukola by’oyagala,
kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.

11 jOlw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 kOmalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
ozikirize n’abanjigganya bonna,
kubanga nze ndi muddu wo.
Copyright information for LugEEEE